Skip to content
Words Without Borders “stands as a monument to international collaboration and a shared belief in artistic possibility.” 
— 2018 Whiting Literary Magazine Prize Citation
from the October 2013 issue

Amaka Gange Amaggya

“Natandika okunywa omwenge okuva ku lunaku lwe neetondeka mu lubuto lwa nnyabo. Omwenge gwe gwatta nnyabo. Yatandika okugunya ng’akyali era yafa muto nnyo. Yanywa omwenge mungi nnyo okutuusa ekiseera lwe kyatuuka nga takyasobola kugunywa; olwo ate omwenge ogwali mu mubiri gwe ne gutandika okumunyunyunta okutuusa lwe gwamukalambaza n’afa.”

 

Ebigambo bino nabikwata bukusu era nzija kubitontomeramu Jjajja Mukulu leero akawungeezi bwe tunaaba tugenda mu kirabo ewa Tongo. Obwo bulimba! Bwatyo Mukulu bw’ajja okuddamu. Nategedde; Bulijjo Mukulu antegeeza nti ebigambo byonna Jjajja Mukyala by’ayogera ng’anyiize bibeera bya bulimba. Bya butaliimu!

 

Jjajja Mukyala yankyawa okuva ku lunaku lwe yatuggulirawo, nze ne Maama Lito, oluggi lw’akasiisira ke n’atukkiriza okuyingira. Maama Lito yeyanjula n’ategeeza nti yali mukwano gwa maama wange era n’annyonnyola nti nze nali mwana wa Ddamulira omugenzi. Jjajja Mukyala yali yazaala omwana omulenzi omu yekka, era nga ye mugenzi Ddamulira. Okweyanjula bwe kwaggwa, Jjajja Mukyala n’ategeeza Maama Lito nti taddamu okuweebuula erinnya lya mutabani we omugenzi, era bwatyo ne yekuba mangu ekisenge n’akomawo n’ebbakuli erimu amazzi. Yatandika okwetoloola ennyumba nga bw’annyika akeeyo k’ebisenke mu bbakuli y’amazzi ng’eno bw’agamansira mu nsonda ne ku bisenge by’ennyumba. Yategeeza nti gano gaali mazzi ga mukisa agaali gagenda okuganga enju ye kubanga saali muzukkulu we, wabula nali kisiraani.

 

Okuva kwolwo, Jjajja Mukyala tasalangako kundaga bukyayi. Mu kiseera ekyo nalina emyaka musanvu egy’obukulu. Kaakati mpeza emyaka kkumi egy’obukulu era nkimanyi nti andaba ng’emmomboze.

 

Naye Mukulu ye anjagala. Ampita muzzukulu.

 

Leero emisana Jjajja Mukyala yandagidde okusomba amazzi nzijuze eppipa. Kino tandagirangako kukikola. Nsuubira nti ayagala mbeere n’emirimu mingi ginnemese okuwerekerako Mukulu mu kirabo ky’omwenge.

 

Mukulu atera okugenda mu birabo by’omwenge, era buli lw’abeera agendayo, agenda nange. Agamba nti abeera ayagala musitulireko omuggo gwe, si kulwa ng’ajja kwetaaga okugukozesa. Mukulu omuggo guno tagukozesa, ne bw’aba atamidde. Atambula nange asobole okuntaasa ku Jjajja Mukyala ekiro.

 

Guno omulundi gwakutaano nga neserejja ku luzzi. Ensingo etandise okunnuma olw’okwetikka ekidomola ky’amazzi; obulumi bwagala kunzita. Naye ate sirina kuwummula. Eppipa tennaba kujjula.

Jjajja Mukyala asiiba atudde nga yezinze awo wansi ku mudaala ku kkubo w’atundira obwennyanja obukalu obwenkana ekibatu kyange, n’obunyaanya obwenkana ng’ennyindo yange, wamu ne nnakati n’ebbugga ebyawotoka edda. Alannamizza amagulu ge, kumpi ebigere bye ebiddugala byagala kukoona ku mwala ogulegamyemu amazzi oguli wakati w’omudaala gwe n’oluguudo. Azingiridde emikono gye wansi w’amabeere ge amanene ng’alinga ayagala okugawanirirako. Era ayambadde kabbulawuzi akataliiko mikono, akamutippye nga kalimu ebiba ebiddugavu n’ebya kakobe. Kuno ayambaliddeko sikaati eya kitaka. Zino ze ngoye z’ayambala kumpi buli lunaku. Engoye ezoolesa ennyama gye yabaza ku mikono gye, ku kifuba, ku lubuto ne mu kiwato bw’ogigeraageranya n’obugulu bwe obwaswaluka ate nabwo bw’ayolesa.

 

Ngezaako nnyo okumwewala nga mpita mu kakubo akekooloobya emmanju w’enju, ne kaggukira emiryango awali eppipa y’amazzi ewanikiddwa waggulu ku makooko ga kirundu. Mpalampira ku katuuti ke napanga mu matoffaali. Akatuuti kano ke kannyamba okusobola okutuuka waggulu mu ppipa. Nkangabalala ne nywera bulungi era bwe mba njiwa amazzi mu ppipa, amaaso gange sigaggya ku mazzi ge mbeera nzitulula kubanga mbeera mpulira muli obukambwe bw’eriiso Jjajja Mukyala ly’abeera ansimbye. Mbeera mpulira muli nga njagala waakiri amboggolere oba anvume; ebivumo binsingirako obukambwe bw’eriiso obubeera mu maaso g’antunuuliza.

 

Ntunuulira amazzi nga gafukumuka geggunda mu ppipa n’obuswandi nga gapikibwa akatuli akali waggulu ku kidomola. Ku lweserejja olw’omulundi ogwokuna, ekidomola kyansimattuse ku mutwe ne kyekatta wansi ku kyuma ekisongovu ekyabadde mu ttaka. Jjajja Mukyala agenda kundya obunyama singa ategeera ebyatuuse ku kidomola kye.

 

Newuunya okuba nti tannaba kunkaayuukira okuva lwe natandise okufukumula amazzi. Ebivumo bye tebikyantiisa. Ebigambo by’ayogerera omugenzi maama wange omwagalwa bye binnuma. Eno ye nsonga lwaki neesunga Mukulu akomewo mu kibuga tusobole okugenda mu kirabo ky’omwenge gy’atamiirira. Mukulu bw’abeera atamidde, ebibuuzo byange byonna abyanukula bulungi mu bujjuvu. Nzija kumubuuza anyinnyonnyole byonna Jjajja Mukyala bye yayogedde ku maama wange.

 

Mukulu yali atamidde lwe yahhamba nti anjagala; yali atamidde lwe yantegeeza nti maama wange yali anjagala, nti mikwano gya maama – Maama Lito, Maama Karo ne Maama Naki – abandabirira nga maama amaze okufa, bonna baali banjagala. Buli lw’abeera atamidde antegeeza nti musanyufu kubanga alina omuzzukulu. Yali atamidde lwe yansomesa walifu y’Olungereza n’okubala emiwendo. Buli wiikendi, bwe tuba tuva ku kirabo ky’omwenge, anjigiriza Olungereza.  Ye ye nsonga lwaki nze nkulembera bannange mu kibiina buli lusoma, newankubadde oluusi njosa ne sigenda ku ssomero.

 

Singa abaddewo wano kati yandibadde antikkula eggugu ly’omulimu guno… okuggyako… Eryo si ddoboozi lye?

 

“Musika Musika, yanguwako, yanguwako, tugende. Leeta omuggo gwange. Twakeereye dda.”

Mukulu akomyewo!

Ampita Musika, omusika, kubanga agamba nti buli ky’alina kyonna kyange. Bombi tebampita linnya lyange erya Yosiya Mondo. Jjajja Mukyala ampita mannya malala. Mbwa ggwe, Kisiraani ggwe, Muzimu ggwe. Naye ate Mukulu yantegeeza nti Jjajja Mukyala alina erinnya lye yabatiza buli kisiraani na buli kitalo ekyamutuukako mu bulamu bwe. Si musango gwange okuba nti ebisiraani bye asalawo okubibatiza amannya ng’ayitira mu nze. N’olwekyo nze amannya g’ampatiikako sigafaako.

 

“Musika!”

 

“Wangi, Mukulu!” Nkunkumula amazzi agabeera gasigaddemu, mbuuka ku katuuti ne nziruka okusala oluggya okugenda okumusisinkana, okumutegeeza nti nkyabuzaayo ebidomola by’amazzi ebirala bitaano bye nina okukima ku luzzi.

 

“Nedda nedda nedda. Ebyo bigira birinda. Weetegeke mangu omale ondeetere omuggo gwange.” Abuuse omufulejje era kaakati yesimbye awali Jjajja Mukyala apiikaana n’essungu. Nziruka mangu okuyingira mu nnyumba.

 

Ndi munda mu nnyumba, mu kisenge ekijjudde cakalacakala, mwe njala obuliri bwange ekiro ng’obudde buzibye, ate era we tukozesa ng’eddiiro emisana. Eddirisa ly’ekisenge kino eriri waggulu w’obuliri bwange liggule era empewo eyingiza obusagwa bw’ebigambo bya Jjajja Mukyala, ebibalagala ng’olunyata mu maaso.

 

“Ogenda wa leero?” awogganira Mukulu. “Wa Brown? Wa Tina? Njagala osange ebisiraani gy’olaga! Ogwe ekigwo! Omenyeke okugulu!”

 

Mukulu akyesimbye waali. Neeraliikiridde muli nti okutiisatiisa kw’ebisiraani okumukoleddwako kuyinza okumutengula emmeeme n’asazaamu olugendo lwaffe. Laba nate era ndi ne Mukulu nga tugenda tusarinkiriza; tugenda mu kirabo ky’omwenge ewa Tongo! Tugenda mu bbaala ya Tongo, so si walala wonna!

 

Kale njagala Tongo. Mu bakyala abangi abatunda omwenge mu birabo bye twali tugenzeemu ne Mukulu, Tongo gwe nsinga okwagala kubanga abeera musanyufu nga ne mmange bwe yali. Nze nkimanyi. Bwe nasooka okubuuza Mukulu ebikwata ku maama, yantegeeza nti teyamulabako nga mulamu. Naye yawuliranga abantu nga bagamba nti yalinga mukyala musanyufu. “Omukyala eyasanyukiranga buli muntu yenna,” bwatyo bwe yantegeeza. Tongo abeera musanyufu buli kiseera. Ansanyukira, era kino buli lw’akikola mbeera ndaba omukwano gwa nnyabo. Ate bw’ankwatako n’ampeweeta ku bibegabega, mpulira muli omukwano gwa nnyabo; neerabira ennaku eyantuukako nga nkyali bbujje.

 

Ate ekirala, ewa Tongo gye nzija okufuna ebintu bye netaaga okumaliriza okukola butida yange. Netaaga olukoba lwe hhenda okubba ku kkaliya y’eggaali ya Mukayi. Buli lwe tugenda mu kirabo kya Tongo, tusanga Mukayi atamidde.

 

Jjo nakoze butida. Ekyokulwanyisa kino kijja kututaasa kubanga ennaku zino tukomawo kiro nnyo okuva mu birabo by’omwenge. Nafuna akati k’omupeera akaliko amakabi. Nga bwe mpisa obulusu ku ngalo zange – ndaba Mukulu ayisa obulusu ku ngalo ze ng’asiba ebintu – nasibye olukoba ne ndumyumyula waggulu ku busongezo bwa butida. Kati mbuzaako ekikoba ekiwanvu, ekigazi kye nzija okusiba okwetolooza akati k’amakabi obuseerevu obukaliko bubikkibwe enjola z’ekikoba kino. Enjola zino zinnyamba okukwata butida n’enywera bulungi mu ngalo nga hhenda okukuba ssabbaawa. Ate butida bw’enywera obulungi mu ngalo kinnyamba okukuba ekintu ne nkisona bulungi. Ssabbiiti ewedde nakuhhaanya ggama nnamba ey’amayinja amawunde obulungi ge hhenda okukozesa ng’amasasi mu butida yange.

 

Nga bwe nkwata mu kaveera akaddugavu akalimu ebintu byange, nsabirira muli Mukulu adduke mangu atere asegulire ebivumo bya Jjajja Mukyala. Nsikayo essaati yange eya bbululu ow’amazzi – essaati y’emikono emiwanvu yokka gye nina – Mukulu gye yangulira ku Ssekukkulu ewedde, n’empale yange eya kakki. Nyanjuluza essaati ku mufaliso gwange oguzingiddwa, ne ngezaako okugiggyamu amavuunya nga nkozesa engalo zange. Oluvannyuma nteeka amazzi ku kawero akakola ng’ekyangwe kyange ne nesiimuula enfuufu ku bigere.

 

Jjajja Mukyala ayingira mu nnyumba amangu ago. Ansanga nkikiitana ne zipu yange eyataggulukuka.

 

“Bw’otolekeraawo kugenda mu birabo  bya mwenge na jjajjaawo, omwenge gujja kutandika okukufenkenya nga bwe gwafenkenya nnyoko!” Ampandulira amalusu ku bigere.

 

Laba obugwagwa nate. Alowooza nti nywa omwenge so nga sigunywa. Simanyi oba ndinywa omwenge nga nkuze. Mukulu tayagalira ddala nywe mwenge. Bwe tubeera mu kirabo, angulira mubisi gwokka. Ewa Tongo, Mukulu angulirayo sooda ow’ekika kya Fanta, gwe nsinga okuwoomerwa.

 

“Omubiri gwo gujjuddemu ekintabuli ky’omwenge omuzungu, omuganda, amalwa, emmandule… eh! Njogere ki ndeke ki?” Akutama wendi kyokka nze ne sisitula mutwe nga bwe yandinsuubidde okukola. Ayimiridde kumpi nnyo nange; ekivundu kinzita ekiva mu nseenene eziri mu kisero  ky’aweese. Enseenene zino nze nazikutte jjo, naye yahhaanye okuzisiika nga zikyali nsu. Kaakati zimaze okuvunda naye akyayagala okuzirya.

 

Mukulu ayingira mu nnyumba. Nziba oluuso mpolampola ne mutunuulira, nga nsuubira nti ajja kusikayo omuggo gwe agugalulire Jjajja Mukyala asobole okumungobako. Naye takikola. Ayitawo buyisi n’agenda mu kisenge kye. Naye Mukulu mwesiga. Singa akenga nti Jjajja Mukyala antulugunya, ajja kubaako ky’akolawo.

 

“Musika, twala omuggo gwange, onnindire wali wabweru.” Jjajja Mukyala asoonooka mpola n’agenda afutubbala mu mulyango. Omugongo gwe gwagaagala ne guziba omulyango. Ndowooza ateekateeka kunkwata magulu na kunkonkona ngolo ku bukongovule nga mmuyitako.

 

“Ndowooza ne mu ntaana oligenda naye,” bye bigambo Jjajja Mukyala by’atuwereekereza nga tubuuka omufulejje. Atolotooma nga bw’agaaya enseenene envundu; ng’atabika omugoyo gw’ebigambo bye, obutwe bw’enseenene, ebyoya n’ebibuto byazo.

 

Nyimiriramu kubanga sikyawulira lugabire za Mukulu bwe zepacca ku bisinziiro bye. hhenda okukyuka nga ndaba addayo yekandagga okwolekera Jjajja Mukyala. Bw’atuuka waali n’ayimirira n’amwesimba mu maaso. Mpulira njagala kudduka nzireyo mmukwase omuggo ggwe amuwuttule nnyaabula. Mpulira muli nga Jjajja Mukyala yetaagayo essomo erinaamukomya okuntulugunya. Naye nsigala nnyimiridde kubanga nkimanyi nti Mukulu tajja kumukuba. Nsaba nnyo bulijjo Jjajja Mukyala afuneko ku buwoomi bw’obulumi bw’okuwuulwa omuggo, okupaccibwa oluyi, oba okufuntulwa agakonde. Singa aloza ku bubalagaze obwo, tajja kuddayo kunkijjanya.

 

Atunudde eri naye manyi nti amulaze obukambwe obwa bulijjo, emitaafu gimwetimbye mu kyenyi, amaaso ge gasuukiira. Kino ky’akola buli kiseera Jjajja Mukyala lw’amutankuula; kukambuwala na kusiba mitaafu. Emirundi egimu awuuba omuggo gwe naye tagumukuba. Agalula oluyi naye talumupacca.

 

Jjajja Mukyala abaako ky’atolotooma ekireetera Mukulu okukyuka omulundi gumu. Ndowooza amugambye nti ‘nsonyiwa’ asobole okumuleka. Jjajja Mukyala tabonerera. Buli lunaku asosonkereza Mukulu, era nange ankijjanya. Buli Mukulu lw’aba taliiwo, omukyala ono abaako ekintu ky’ankola; ayinza okuninnya ekigere, okunkoona olukokola, okunkonkona omutwe ng’abadde ampitako, oba okunsuna obutumbugulu singa mmuyitako ng’atudde wansi. 

 

Nga bulijjo, nze nkulemberamu nga tugenda twewagaanya mu mugotteko gw’obuyumba bw’e Kikubo; anti guno gwe muliraano gwaffe. Obuyumba bwonna bumpi nnyo; buli kiseera Mukulu abeera alina okukutamako okwetegula ebisasi by’essubi eriserese obuyumba buno. Obuwunjuwunju bwonna obusarinkiriza mu Kikubo mbumanyi. Okusomoka omugotteko gw’obuyumba buno si kyangu kubanga tulina okubuuka emifulejje egicuuma, n’okusaabala entuumu za kasasiro. Ezimu ku ntuumu zino ngulumivu nnyo, nga kitwetaagisa kuzetoloola okusobola okuziyitako, nga bwe tugenda tulinnya ku mitulumbi gy’embwa ne kkapa envundu, nga bwe tubuuka ebicupacupa n’ebikebe ebyatifu. Ntambula negendereza kubanga saambadde ngatto mu bigere.

 

Emirundi egimu bwe nva ku ssomero, ntambulatambulako mu mugotteko gw’obuyumba buno nga noonya obukubo obutaliimu kubuuka mifulejje na kwetoloola Nsozi za Kasasiro. Sinnaba kuzuulayo n’akamu. Mukulu tasobola kubuuka mifulejje migazi nnyo. Ayitira ku butindo obuyuuga. Naye sirina kutya kwonna kubanga nkimanyi nti muwanvu nnyo ddala nga tasobola kubbira singa olutindo lumenyeka n’agwa mu kazambi.

 

Namanyiira obusirise bwa Mukulu, era nange obugenze nga bunkwata. Byonna ebitwetoolodde byogera okuggyako ffe. Nina ekibuuzo kye njagala okubuuza Mukulu naye ate mpulira muli nga kijja kuba kikyamu okukutulamu akasirise kaffe. Naye era mala ne nkakutulamu.

 

 “Mukulu, ekintu ekikuli munda mu mubiri kisobola okutandika okukulya… kisobola okukunywamu… omusaayi gwonna?”

 

“Ekiki?”

 

“Kisoboka okuba nti… singa omuntu anywa ennyo omwenge, omwenge ogwo gumala ne gumunyunyuntamu omusaayi gwe gwonna?”

 

“Ebyo Jjajja Mukyala ye yabyogedde?”

 

“Yee. Nti maama wange omwenge gwe gwamutta. Yatandika okunywa omwenge ng’akyali muto era n’afa nga muto nnyo. Yanywa omwenge mungi nnyo okutuusa ekiseera lwe kyatuuka nga takyasobola kugunywa; olwo omwenge ogwali mu mubiri gwe ne gutandika okumunyunyunta okutuusa lwe gwamukalambaza n’afa.”

 

Nzita ku bigere, nga ninda ateeke omukono gwe ku kibegabega kyange. Kino akikola buli lw’abeera agenda okubaako ensonga gy’anyinyonnyola

 

Akasiriikiriro.

 

Ntandika okwekwakkula, nga ntambula nyanguyirira kubanga obusungu bunnuma era bujula okunjabya; okusirika kwa Mukulu si kwe kunsunguwazza wabula obutali bugumiikiriza bwange. Nandirinze okutuusa ng’amaze okutamiira. Mukulu tanyinyonnyola kintu kyonna okuggyako ng’atamidde.

 

Nkizuula nti Mukulu mmulaze obusungu bwange, bwentyo nzita ku bigere. Sirina kusunguwalira Mukulu. Anjagala nnyo. Newuunya obukugu bw’akozesa okunsomesa n’okunyinyonnyola ebintu ng’atamidde. Kino kyongera okundeetera okwewuunya omwenge. Omwenge gusobola gutya okuba omubi bwe gutyo ate omulungi ekyenkanidde awo? Buli lunaku Jjajja Mukyala aleekaana, ‘bwe waba waliyo ekintu ekirikutta, gulibeera mwenge.’ Naye Mukulu agamba nti bwe waba waliyo ekintu ekimukuuma nga mulamu, gwe mwenge. Omwenge gusobola gutya okuba omubi bwe gutyo n’okutuuka okutta maama wange, ate nga mulungi okuzaama okutuuka okukuuma Mukulu nga mulamu?

 

Tutuuka ku mufulejje ogusooka, ogwawula ennyumba ya Taata Kiwa ku ya Taata Lule. Lule ne Kiwa nsoma nabo mu ssomero lye limu. Ebyovu ebya kitaka ebikyafu ebyerembese waggulu ku mufulejje bivulula ng’obuugi bw’obusera obukwafu obutokotera mu ntamu. Jjuuzi, omufulejje guno gwajjula ne gubooga nga nnamutikwa w’enkuba atonnye. Kazambi asseeko katono wansi naye era akyasobola okuleetera omwana omulala ow’emyaka ebiri okubbira, nga bwe gwali mu kire ky’enkuba kiri.

 

Obuwala bubiri obuli kumpi obukunya busitamye kumpi n’omufulejje nga bumenyamenya amatoffaali agaabumbibwa mu ttaka nga bwe busuula amafunfugu mu kazambi abimbye ejjovu; bumwenyereketa ng’amafunfugu amanene gedomola mu kazambi, ne gongera okuleeta ejjovu, n’okufulumya eddoboozi eriringa erya Jjajja Mukyala ly’afulumya ng’abejjagala.

 

Olutindo Mukulu lw’alina okuyitako lwa biti bibiri eby’ekifenensi nga buli kimu kyesudde akabanga akawerako okuva ku kinnaakyo. Ndi musanyufu okuba nti waliwo olutindo okumpi wano olutuwonya okugenda nga twetoloola; naye ate era nkimanyi nti ebiti bino tuyinza obutabisangawo amadda. Omuntu akyayinza okubibbawo abifuule enku.

Bwe mba mbuuka omufulejje, kazambi acuuma okufa atonnya ku mukono gw’essaati yange, n’alekako ekipaapi ekya kitaka. Numba obuwala ne mbukonkona emitwe nga nkozesa entolima y’omuggo gwa Mukulu.

 

“Tokikola!” Mukulu awoggana nga bw’adduka okujja wendi.

 

“Labayo, Mukulu!” Musikirayo omukono gwange alabe ekipaapi ekiri ku ssaati gye yangulira.

 

“Kiki kye nakugamba ku bakazi?” tanzigyako maaso. Tansibira mitaafu nga bw’agisibira Jjajja Mukyala, naye ankangulira eddoboozi ly’atamukangulira.

 

“Banafu,” nziramu nga ngezaako okussa eddoboozi lyange obuwala buleme okutegeera nti ntidde. “Baatondebwa nga banafu ku basajja.” Nsaba muli nti singa Mukulu naye akakkanya ku ddoboozi lye.

 

 “N’olwekyo?”

 

“N’olwekyo sirina kubakuba.”

 

“Ate kiki ky’ova okukola?”

 

“Bonoonye essaati yange.”

 

“Ate kiki ky’ova okukola?”

           

“Mbakonkonye emitwe nga nkozesa entolima y’omuggo gwo.”

 

Nkyuka mangu ne netondera obuwala olw’okusanyusa Mukulu, naye nga sikitegeeza. Munda muli ndi musanyufu okuba nga mbukonkonye emitwe. Buyize essomo. Bulekeddaawo okukasuka amayinja mu mufulejje.

 

Ffe tusembyeyo okutuuka. Mikwano gya Mukulu gyonna – abayita baduumizi ba ggye – gitudde ku butebe obumpi mu kasenge ka Tongo. Eggaali ya Mukayi agyesigamizza ku ppipa ya Tongo wabweru. Enjuba tennaba kugwa naye obudde bunaatera okuziba, era Mukayi ajja kutamiira ansabe muteere eggaali ye ku lubalaza. Ntuula ku mukeeka mu nsonda we nsobola okulabira Tongo ng’ayingira n’okufuluma mu lutimbe olw’ebimuli ebya kakobekobe olwawula obuliri bwe ku bbaala.

 

Tongo leero yasibye enviiri ndala ku mutwe gwe. Era ayambadde ssikaati emyufu nga nnyimpi. Abaduumizi b’eggye bamukubaakuba ku ntumbwe nga bwe bazisunaasuna, eno nga bw’atuuza ggiraasi z’omwenge ku kameeza akali wakati mu ddiiro. Asekaaseka era n’atiisatiisa okubasamba naye takikola. Emirundi egimu bw’abeera ayambadde empale empavu, abaduumizi b’eggye bamukubaakuba ku bunyuma era n’atiisatiisa okubakuba empi naye takikola. Buli muntu amukwatako okuggyako Mukulu. Nebuuza lwaki.

 

Buli lwe mmulaba ng’atuuza ggiraasi ku kameeza nebuuza oba ddala maama wange naye bwatyo bwe yali akola. Oba nga ddala maama yakyusanga enviiri nga Tongo, oba ddala emimwa gye gyali mimyukirivu ng’omusaayi. Oba ddala waaliwo abaduumizi b’eggye mu kirabo kye abaamutigaatiganga amagulu n’obunyuma wamu n’okubisunaasuna – nandibakubye ne butida yange.

 

Tongo agenda azinaazina nga bw’akasuka emikono mu bbanga. Asekaaseka. N’oluvannyuma atuula ku kameeza, nga yegendereza obutakoona ggiraasi. Kino kirina kye kinzijukiza; Jjajja Mukyala yabadde ategeeza ki jjo bwe yagamba nti olubuto lwange nnyabo yalufunira ku kameeza kwe yali agabulira abaguzi ebyokunywa? Nzija kubuuza Mukulu nga tuddayo eka.

 

Tuli mu kkubo tuddayo eka. Olukoba lwe nabbye ku ggaali ya Mukayi ndwezingiridde ku kugulu, nga lwekwese munda mu mpale yange eya kakki. Naye ndumyumyudde nnyo era ntandise okuwulira okusannyalala. Mpulira muli nga naatera okutandika okuwenyera era nga Mukulu ajja kundaba. Njagala kusooka kuyimirira nsobole okuddiriza olukoba, naye ate naye ajja kuyimirira antunuulire. Njagala kumubuuza bibuuzo byange: engeri maama wange gye yafunira olubuto lwange ku kameeza, engeri omwenge gye gwamunyunyunta okutuusa okumutta, engeri gye natandika okunywa omwenge okuva ku lunaku lwe neetondeka mu lubuto lwa nnyabo, naye sisobola. Ajja kunkwata ku kibegabega annyimirize, olwo atandike okunyinyonnyola. Era ajja kundaba nga nennyamira n’okubulwa emirembe. Mukulu tasobola kumanya nti nabba olukoba. Tasobola kusuubira nti ndi mwana wa mpisa mbi.

Read more from the October 2013 issue
Like what you read? Help WWB bring you the best new writing from around the world.